By Spear Team
Social activist Frank Gashumba has yet again criticized Buganda land project dubbed ‘Kyapa mu ngalo’ by asking tenants to think again before applying for one.

Gashumba  posted on his face book page that there was no way a lease that is given to tenants on Kabaka’s land can  be an automatic renewal by citing an example of what is happening to Godfrey Nyakana and Sarah Kizito who have been sitting tenants of Centenary park whose lease was not renewed by director Jennifer Musisi.

To Gashumba it was because of the close relationship Nyakana has with influential people in government that he was given audience by president Museveni who intervened and saved them. If Nyakana was a common person, Gashumba said, he would not have met Museveni for rescue.

He added that for anyone to have kyapa mu ngalo you must first have a contact in Kabaka’s Banda palace to be secure.  He cautions Baganda to be mindful of what will happen after 49 years elapse  to avoid what happened to Nyakana’s family after  KCCA ‘connived’ with  National Water and sewerage Corporation and UNRA to evict the rightful owner.

However, speaking to Spear News Buganda kingdom spokesperson Noah Kiyimba noted that the two cases are totally different. “Nyakana was given public land, so there is no way the two cases can be compared, in our case we talking about people who had  bibanja initially,”

Kiyimba said. “When we say that the lease will have an automatic renewal, at the back of our mind we know that this person is a kibanja owner, this is about the welfare of our people in terms of compensation, a kibanja owner is paid 30%, lease owner 70% and freehold 100%,” Kiyimba added.

He cautioned Gashumba to separate between politics and developmental issues, and not to ‘just speak in order to get attention. “This is the only way that can help us protect Kabaka’s subjects, because these titles are issued by the central government.”  Kiyimba.

Below is the full post
ATALINA SIMU YA MULUBIRI E BANDA WEKAABIRE
Tututte akaseera nga tunnyonnyola obulabe obuli mu nkolaya Kyapa mu
ngalo abamu ne balowooza nti tukirwanyisa. Bazze bawuddiisa abantu nti
liizi eno bw’eggwako eddizibwa buggya ‘automatically’
Tunuulira Godfrey Nyakaana ne Nalongo bwe baakaabye twaha nga Jennifer
Musisi amaliridde okubatwalako Centenary Park mbu agigabire
Omusomaali! Embeera ey’okusika omuguwa yatandika 2012 abaserikale ba
KCCA bwe baakeera ne bazinda Centenary Park ne batandika okumenya
ebimu ku byali bizimbiddwawo.
Singa teyali minisita America Kyambadde akagoba kaali kaweddemu,
kyokka yakozesa obuyinzabwe nga minisita w’amakolero n’obusuubuzi
n’abiyimiriza. Akavuyo akaaliwo kaakanuza Kyambadde eriiso okujula
okumubuuka mu kiwanga.
Olwava wano yakulemberamu Nalongo (mukyala wa Nyakaana) ne bagenda ku
City Hall okusisinkana Musisi. Bangi baawuniikirira Musisi bwe yatuuza
Kyambadde ne banne okumala ekiseera nga bamulindirira.
Nyakaana ne mukyalawe baddukira mu kkooti nga balaga nti KCC yali
ebawadde liizi era olukiiko lwa KCC ne luddamu ne lulagira liizi
ezzibwe buggya Musisi kye yagaana.
Ebyayita ng’obitadde ku bbali, Nyakaana ne mukyalwe baddukira mu
kkooti ne beekubira enduulu era yalagira babaliyirire obukadde 800!
Zino sente za muwi wamusolo zeezigenda teziva mu nsawo ya Musisi.
Embeera yazzeemu okutabuka gye buvuddeko ne Batuuka okubayita mu
palamenti nga bagamba nti Nyakaana ne mukyalawe balemesezza ekitongole
ky’amazzi okuyisaawo emidumu gy’amazzi ne kazambi. Ensonga olwatuuse
mu palamenti, Omubaka Abdul Katuntu akulira akakiiko ka COSESA
n’alagira obuyumba obutudde webaagala okuyisa emidumu gy’amazzi
bumenyebwe.
Yalagidde poliisi eweeyo obukuumi obwetaagibwa, olunaku lwe baakedde
okukuuma ku Lwokutaano wiiki ewedde, Amagye agakuuma pulezidenti aga
SFC gaakedde kuyiibwa mu kifo kyekimu ne bagobawo poliisi.
Kigambibwa nti Nyakaana olw’okubeera n’abanene baamanyi yasobodde
okufuna omukisa okusisinkana pulezidenti eyayimirizza okumenya era
yalagidde bwe kibeera kyetaagisa okumenya obuyumba buno Nyakaana
yennyini ne mukyalawe bakyekolere.
Omuntu wabulijjo sigala yewuunya nti singa Nyakaana yabadde talina
busobozi kutuuka wa pulezidenti Museveni kati yandibadde luddawa?
Ggwe afuna ekyapa mu ngalo nga tolina simu ya mu Lubiri e Banda
wooyimiridde wagumu? Kuba akafaananyi ng’emyaka 49 giweddeko ne
batandika okukuyiribya nga bwe baasindiikiriza Nalongo ne Batuuka
n’okumwambula mu lujjudde ne bamupakira mu kabangali.
Jennifer Musisi Omulokole yeerimbika mu National Water ne UNRA
okutulugunya abantu, abaabadde mu nsisinkano yabwe ne pulezidenti
baatutegeezezza nti pulezidenti yewuunyizza nnyo okulaba ng’aba UNR
bagamba nti flyover gye baagala okuzimba yetaaga ettaka yiika 8. Aba
Nalongo Estates bo beetegefu okuwaayo yiika ebbiri okusobozesa UNRA
okuyisaawo oluguudo.
Ekiseera kino newankubadde nga tebannaba kumenya, aba National Water
bagenda mu maaso n’okusima wansi w’obuyumba okuyisaawo emidumu
gy’amazzi egyabadde giweesezza ebiragiro okumenyawo okubasobozesa
okusima n’okuzimba.

Opinions

Advertisements